Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 184 listening Simba FM Live
News

Poliisi ekutte abagambibwa okukuba ebiccupuli ku Nasser

June 12, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekya Directorate of Crime Intelligence nga kikolera wamu n’ebitongole byebyokwerinda ebirala bwekyakoze ekikwekweto ku Elite Arcade ku Nasser Road, shop A-08, nekikwata abantu 8 abagambibwa okwenyigira mukujingirira ssente, okuzitunda wamu n’okuzisaasaanya. Abakwatiddwa kuliko abakulira Mukasa Ronald, ne banne okuli; Mugumya Geey, Brian Abaho, Joel Kagame, Ogadi Ronald, Namuwaya Shadia, Segwayi Rodgers ne Abu Mayanja.
Mu kikwekweto kino Poliisi yazuuliddemu ssente enjigirire okuli eza Uganda, South Sudanese Pounds, US Dollars, Euros, Rwandan Francs, United Kingdom Pounds , Kuwaiti Dinars, nendala.
Poliisi era yakutte ebintu ebikozesebwa mu kukola ssente zino omuli; films, empapula, chemicals, Computer, digital printers, n’ebyapa ebigambibwa okuba ebijingirire ssaako n’empapula z’obuyigirize.
Bya Kamali James