Akubye bba akakumbi n’amuttirawo e Kyotera

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police mu Disitulikiti empya ey’e Kyotera egombyemu obwala omukazi Nassolo Harriet myaka 26 nga kigambibwa nti yakkakkanye ku bba Kayemba Joseph myaka 35 n’amutta. 

Nassolo ono oluvannyuma lw’okutta bba yatemezzaako mu batuuze nga bwasse bba .

Omwogezi wa Police mu bitundu bya Masaka ategeezezza nti omukyala ono bba yamusizza kakumbi era omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro ly’e Kaliisizo era n’avumirira ekikolwa kino. 

Bino bibadde ku kyalo kyakaleere ekisangibwa mu ggombolola y’e Kirumba mu Disitulikiti y’e Kyotera. 

Share.

Leave A Reply