AIGP Kasingye alagiddwa okusasula engasi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
ASAN KASINGYE ABONEREZEBWE;
Akakiiko k’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA)akakwasisa empisa aka FUFA Ethics and Disciplinary Committee kabonerezza Ssentebe wa Police FC AIGP Asan Kasingye olwokumenya akawayiro Article 39(2) aka FUFA Ethics Code akatangira abantu abakwatibwako akawayiro kano obutayogera binyomoola FUFA oba omuntu yenna eyenyigira mu mirimu gya FUFA
AIGP Asan Kasingye wakukola bino;
1. Wakusasula engasi ya bukadde 2 n’ekitundu mu naku 30 oluvannyuma lwokusalawo kuno.
2. Ajja kuwerebwa okumala emyezi 6 nga teyenyigira mu byamupiira byonna wano mu Yuganda n’ensi yonna singa anaddamu okukola ekikolwa kyonna ekinyomoola abakungu ba ttiimu oba abomupiira oba singa alemererwa okusasula engasi emulagiddwa.
Kinnajukirwa nti Kasingye yava mu mbeera nalumba abakungu mu mupiira Police FC bweyali ezannya ne

Vipers SC

ku Kisaawe kya St. Mary’s nga balanga okusaliriza.

Share.

Leave A Reply