Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 495 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abiriga asingisiddwa ogw’okufuuyisa ku kisenge

October 24, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Munisipaali ye Arua , Col. Ibrahim Abiriga asingisiddwa omusango gw'okufuuyisa ku kisenge kya Minisitule y'ebyensimbi mu Kampala  era n'alagirwa okuliwa emitwalo ena  (4.000)     

Omulamuzi wa kkooti yooku City Hall mu Kampala, Beatrice Kainza Enkya ya leero,  asingisizza Omubaka Abiriga oluvannyuma lw'okukkiriza omusango era bwatyo n'amulagira okusasula omutango gwa mitwalo ena (40.000) oba okusibwa e Luzira okumala ssabbiiti bbiri singa alemererwa okusasula  

Kkooti okuwa Abiriga ekibonerezo kino, esinzidde  ku mbeera ya Abiriga ey'obulamu eyalagiddwa mu nnamateeka we Usamah Ssebuufu mu biwandiiko by'eddwaliro nga Abiriga tasobola kusibira musulo bbanga ddene !!