CAO we Buliisa akwatiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu egikolebwa okuva mu Offiisi ya Pulezidenti Peter Ogwanga alagidde Chief Administrative Officer wa Disitulikiti y’e Buliisa Simon Bimbona akwatibwe n’abalala 3 abaali bavunaanyizibwa kukusima nayikonto mu Disitulikiti eno.
Minisita kyamuweddeko bweyakizudde nti ebyateekebwa mu Alipoota nti bwakolebwa nga tebiriiyo okugeza Alipoota eywandiikibwa CAO yalaga nti basima nayikonto 6 mu magobolola ag’enjawulo ku bukadde 173, wabula basanzeeyo 1 yokka ekola nga endala 2 zaali zaafa mu mwezi gumu.
Abakwatiddwa kuliko CAO Simon Bimbona, Chief Finance Officer Arthur Kibaretende, District Internal Auditor William Mpagi ne Engineer Maurice Wakame bakwasiddwa DPC wa Buliisa John Mwaule abasibe.
Share.

Leave A Reply