Ab’ebyobulamu beralikirivu ku baana abanywa amata amabisi

Abavunaanyizibwa ku by’obulamu mu disitulikiti ye Ssembabule beralikirivu olw’abaana bamasomero abatwala amata g’ente amabisi ku ssomero okugasiibirira.

Abaana bagamba nti bazadde baabwe bagamba nti bo tebalina ssente zakusasulira mmere nga ate balina amata mangi awaka. Matovu agamba nti okunoonyereza kulaga nti okunywa amata amabisi mu disitulikiti ezimanyiddwa ennyo mu kulunda omuli Lyantonde, Gomba, Kiruhura ne Isingiro kyabulijjo era nga bwakitwala nga kyabuwangwa ekiyinza okubeera ekizibu okukibajjamu.

Abasawo bagamba nti kino kyabulabe nnyo okunywa amata amabisi naddala eri abaana abato. Okunoonyereza kulaga nti Ssembabule enfuna abalwadde 1,236 nga bano ba ‘Brucellosis’ wakati wa July 2017 ne April 2018.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Court summons Miniter Kamya