Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 807 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Obwakabaka busse omukago n’ekitongole ky’ebibalo ekya Uganda Bureau of Statistics

October 2, 2020 · Mubiru Ali
Obwakabaka busse omukago n’ekitongole ky’ebibalo ekya Uganda Bureau of Statistics ogunaajisobozesa okutuukiriza obuweereza obwesigamye ku bibalo eri abantu ba Kabaka.
Kulw’obwakabaka, Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Omuwanika, Owek Robert Waggwa Nsibirwa ne Ssenkulu wa Buganda Investment and Cultural Undertakings, Roland Ssebuufu, bebataddeko omukono, ate Ssenkulu wa UBOS Dr. Chris Mukiza, ne Pamela Kansiime bebataddeko kulwa UBOS.
Omukolo gwetabiddwako Minisita w’amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, n’abakungu ba Kabaka ne Gavumenti ya wakati ab’enjawulo.