Ab’e Masaka tebagenda kulonda muyaga ku bwa Pulezidenti – Minisita Nakiwala

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi avuddeyo nategeeza nga Greater Masaka bwetali netegefu kulonda muyaga nga Pulezidenti w’eggwanga.
Nakiwala agamba nti Bannamasaka bakimanyi mu mitima gyabwe ani gwebawagira nti era tebakozesa biragalalagala, balimi nti era bajja kulonda omuntu abafaanana. Ono agamba nti Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine gweboogerako amanyiddwa nti akozesa ebiragalalagala so nga ab’e Masaka balonda abafaanana.
Minisita era ategeezezza nti abantu b’e Masaka tebamanyi bya People Power ebyogerwako mu kibuga, nti bbo e Masaka balonda omuntu okusinziira ku bisaanyizo bye era nga bbo aba National Resistance Movement – NRM bebokka abafaanana ab’e Greater Masaka.
Nakiwala agamba nti National Unity Platform – NUP n’ekisinde kyayo ekya People Power byonna binafu ddala ebitalina mirandira kuba tebalina kamyuufu ka kibiina nga NRM bweyakola. Ono agamba nti NUP yalemwa okulaga amaanyi g’abantu nga balonda mu kamyuufu.
Share.

Leave A Reply