97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Ab’e Kira balonda abantu abatabayamba – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nkyaddeko e Kasokoso nempuliriza ensonga z’Abantu b’ekitundu kino naddala ku nsonga y’Ensimbi za PDM zebagambye nti ntono, waliwo abazibulankanya wamu n’ensonga y’ettaka.
Ngenda kunoonyereza ku nsonga y’ettaka ly’e Kasokoso, nga neyambisa abo bonna abakosebwa okusobola okugigonjoola. Abantu b’e Kira beyimbamu omuguwa okulonda Abakulembe abalemereddwa okugonjoola ensonga zaabwe.
Enkola nga PDM, Emyooha ne Ghetto SACCO zetaaga okulambikibwa obulungi ku buli Muluka nga beyambisa Abakadde wamu n’Obukiiko. Singa abantu 100 buli omu afuna akakadde 1 kiba kibakolera. Tujja kubongera obukadde obulala 100 okuyamba okulwanyisa obwazu mu nzigotta. Njakuddayo nga nfunye ekyokukolera ensonga y’ettaka.”
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply