Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 372 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Waliwo abantu 4 ababadde bafuna omusaala gwa UBC nga sibakozi baayo – COSASE

June 24, 2024 · Mubiru Ali
Winston Agaba, Managing Director wa Uganda Broadcasting Corporation avuddeyo nategeeza Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya Gavumenti aka Committee of Commissions, Statutory Authorities & State Enterprises (COSASE), nti yali takimanyiiko nti waliiwo abantu abaali bafuna omusaala okuva mu Kitongoe naye nga sibakozi okutuusa Ministry of Public Service lweyakizuula.
Bino abyogedde alabiseeko mu Kakiiko ka COSASE Ababaka gyebamuteeredde ku nninga annyonyole lwaki baali basasula abantu abatali bakozi wamu na lwaki baalina enkalala 3 kwebasasulira abakozi ku mirimu gyegimu naye nga bafuna ssente zanjawulo.
Ababadde bafuna omusaala naye nga sibakozi kuliko; Yosam Rugundana (Deputy Head Teacher e Nakasongola), Ssempa Kanakulya (Mukozi mu State House), Patrick Baligonzaki mukozi ku Busitema University ne Christine Birungi Birabwa. Ababaka era bategeezezza nti offiisi ya IGG yasalawo kunoonyereza ku Birungi yekka bbo abalala nebaleka nga kino kireeseewo ebibuuzo.