Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 643 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abazimba eddwaliro ly’e Lubowa baagala baweebwe emyaka emirala 2

April 20, 2022 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu mu Ggwanga Dr. Jane Ruth Aceng Ocero yategeezezza akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu nga omusinga nsimbi eyaweebwa omulimu gwokuzimba eddwaliro ly’e Lubowa bweyabyeyo emyaka emirala 2 asobole okulimariza.
Kinajjukirwa nti eddwaliro lyali lyakumalirizibwa mu June 2021, wabula omusinga nsimbi okusinziira ku Minisita Aceng yabategeeza nga bweyasumbuyibwa omuggalo gw’ekirwadde kya COVID-19 wamu n’enkuba ennyingi eyali etonnya nga eneggwa mu ggulu.