Abavubuka basudde embizzi ku kitebe kya DP ku Balintuma
Bannakibiina kya Democratic Party Uganda okuva mu kiwayi kya Uganda Young Democrats abatakiriziganya nabukulembeze bwa Pulezidenti w’Ekibiina Norbert Mao enkya yaleero basudde obubizzi bwebabadde batadde mu bibokisi ku ggeeti ya offiisi z’ekibiina ezisangibwa ku Balintuma nga bawandiise ebigambo ‘DP yavunda dda okuviira ddala ku kikolo’. Kigambibwa nti zino zisuuliddwa abantu ababadde batambulira ku piki piki ababuzeewo oluvannyuma.
Bya Kamali James

