Abasirikale e Jinja bakubye omukazi amasasi mu lubuto

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ab’ebyokwerinda mu Disitulikiti y’e Jinja baakubye omukyala amasasi mu lubuto bweyabadde atambuzibwa mu budde bwa ‘curfew’.

Eveline Namulondo nga mufumbi wa mmere mu kibuga Jinja mu Garage ya Alakalaka yapookya n’ebiwundu mu Ddwaliro lya Jinja Referral Hospital. Namulondo agamba nti babadde abasaabaze babiri ku booda booda ku ssaawa kumineemu n’eddakiika ana mu ttaano Ab’amaggye wamu ne Uganda Police Force nebabayimiriza wabula owa booda booda nagaana okuyimirira akyawaliriza abasirikale okubakuba amasasi.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Kiira agamba nti okunoonyereza kutandise okuzuula kiki ekyabaddewo.

Share.

Leave A Reply