abasirikale babbye owa mobile money

Abasirikale basatu okuli ow’amagye n’aba Poliisi batadde omuwala akola ku Mobile Money ku mudumugw’emmundu ne bamubbako ssente eziteeberezebwa okubeera mu bukadde 40.

Omuwala ono Janat Kobusingye alina akayumba ka Mobile Money ku Mabua Road okuliraana ekitebekya poliisi y’ensi yonna e Kololo era wano abaserikale we baamuzingirizzang’obudde butandise okukwata ne bamussa ku mudumu gw’emmundu ne bamubbakossente ezaabadde zipakiddwa mu kibookisi ng’ateekateeka okuzitwala okuzitereka. Abaakwatiddwa kuliko ow’amagyeFred Asiimwe omutuuze w’e Kawempe ne Ashiraf Twesigye ow’omu Industrial Area. Bano baabadde n’emmundu gyebaabadde batambuliza mu kasawo akamyufu.

Okusinziira ku sitaatimentiKobusingye gye yakoze ku poliisi ya Jinja Road, ababbi baabadde batambulira kubodaboda ng’omu alina emmundu era yagibuseeko omulundi gumu naagimusongamun’amugamba amuwe ssente zonna. Kobusingye agamba nti, mukutya, yabasongedde ku kibookisi omwabadde ssente nga tannaba kuzibala nebakuuliita nakyo.

Yakubye enduulu aba bodabodane beekolamu omulimu ne bagoba ababbi bano ne babakwata ne babasuuza n’emmundunnamba UG-POL 56767107343. Kyategeerekese nti, ya poliisiera n’abaabadde mu bubbi buno, baserikale ba poliisi n’omujaasi wa UPDF.

Aba bodaboda baakutteko ababbibabiri ne babakwasa abaserikale abakuuma ku kitebe kya poliisi y’ensi yonnan’ezimu ku ssente ze baabadde babbye. Kyokka kigambibwa nti, omueyadduse, ye yabadde ne ssente ennyingi nga poliisi ekyamuyigga. Poliisi yaJinja Road yayitiddwa okukola okunoonyereza era fayiro CRB 1057/2018n’eggulwawo ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Poliisi era yazudde ezimu kussente ezaabadde zibbiddwa 914,700/- ze baasanze n’omu ku babbi n’emmunduyabaggyiddwaako ng’ejjudde amasasi. Omwogezi wa poliisi mu Kampalan’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, balina abantu babiri bebaakwatidde mu bubbi ng’omu muntu wa bulijjo ate omulala w’amagye.

Yagambye nti, baasazeewookubakwasa UPDF bavunaanibwe mu kkooti y’amagye. Yagaseeko nti, eyaddusebagezaako okumuyigga wabula tamanyi oba naye mujaasi oba wa poliisi.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti, tebasobola kwebeera bantu basiwuuka mpisa kubanga ekitongole kye bakoleramu kinene nnyo kyokka n’ategeeza nti, bwe bakwata omuntu asiiwuuse empisa, amateeka gamukolako era omujaasi eyakwatiddwa mu bubbi n’aba poliisi, baakukangavvulwa mu kkooti y’amagye.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

0 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

19 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon