Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 355 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi ekutte omuvubuka eyakuba omuccayina namumenya omukono

June 27, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi mu Kampala ekutte omuvubuka Ashirafu Kivumbi (mu tishati emyufu) lwakulumba munnansi wa China YUQUANG WEI namukuba nga 26, May 2019 ku Bombo Road. Ono yamukuba nemumenya omukono wamu n’okumuyuza ennyindo ate oluvannyuma nemubbako ebintu wamu ne ssente. Omusirikale wa Poliisi yagezaako okumukwata wabula nadduka.
Ono abadde ayigibbwa abasirikale ba Poliisi era nga 2-June-2019 Kkamera za Poliisi enkettabikolwa zamukwata nga abba essimu ku Fred Katsinze bweyali avuga emotoka ye ekika kya Harrier nga ayita okuliraana Bible House ku Bombo Road.
Poliisi yatandise okumuyigga ku Kkamera zaayo nga erondoola entambula ze bwatyo nakwatibwa nga yekwese ewa Maama we. Ono abadde mubbi w’amasimu walulango ku Bombo Road, Gadaffi Road, Kiseeka ne Old Kampala.
Kizuuliddwa nti ono abadde akwatibwa emirundi mingi navunaanibwa era naweebwa n’ebibonerezo wabula bwavaayo natandikira weyakoma. Ono era alonkomye munne Baker aka Buuba nga abadde atera kubeera ku E-Zone e Kasubi.