Abasajja banyiga obusajja – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omubaka wa Kyaddondo East Kyagulanyi Robert Ssentamu ayogera ku byamutuukako nga akwatibwa;

Abasajja banzinga mukigoye ekigumu nebankasuka mu motoka nebankolako ebintu ebitayogerekeka mu motoka! Bansika obusajja, ne banyiga nebitundu ebizaala nga bwebankuba ebintu byenali siraba. Banzijjamu engatto nebatwala wallet yange, essimu wamu ne ssente byenalina. Batandika okunkuba obukongovule nga bakozesa ebigala bya pistol, nawogana mu bulumi nebandagira okulekerawo okubalekaanira. Bakozesa ekintu ekiranga magalo okusika amatu gange. Omu yanzungulula ekigoye nakinsiba ku mutwe nebasindika omutwe ggwange wansi w’omutto gw’emotoka nga baagala ndekere awo okulekaana.

Batandika okukuba omugongo nga bwebanyiga n’obusajja, ebisago ku mugongo, obukongovule, enkokola, amagulu wamu n’omutwe bikyalabika. Nagenda mu maaso okukaaba mu bulumi era ekyaddirira kunkuba kintu ku mutwe ekyalinga ekigala ky’emmundu era wanakoma okumanya ebyali bigenda mu maaso.

Naddamu okutegeera nga ndi mu kasenge akatono nga kuliko akadinisa akatono nga ebigere byange n’emikono gisibiddwa wamu. Nali nvaamu omusaayo mu matu n’ennyindo nga ndi mu bulumi obutagambika. Omubiri ggwange gwonna nga guzimbye nga ndi mu bulumi obutagambika.

Nali nkakana nnyo, era awo abasirikale babiri webayingirira, era nzijukira nti basanyuka okundaba nga nkyali mulamu, bansemberera omu nanetondera nga namaziga gamuyitamu ku byonna ebyaliwo.

Yangamba; “Bobi, nsonyiwa kuba ffenna tetweyisa tutyo, ekituufu abamu kuffe tukwagala.” Yangamba nti abasawo baali bajja okumpa obujanjabi. Nasigala mu kifo kimu okumala essaawa eziwerako, abasirikale bana nebajja nebansitulira ku lugoye. Omu yankuba ekifaananyo oba alikirabako okunzijukira, era bwebaali bantwala nasobola okusoma ekipande ekyaliko “Arua airfield’. Natwalibwa mu Helicopter y’amaggye nebantwala mu kifo kyenategedde oluvannyuma nti yali millitary barracks y’ekibinja eky’okuna e Gulu. Era eyo abasawo ba Military gyebagira nebatandika okunkuba empiso.

Share.

Leave A Reply