Abantu 4 beebattiddwa ku Ssekukkulu e Mubende ne Kyankwanzi – Police

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police mu ttundutundu lya Wamala  egamba nti mu biseera bya Ssekukkulu abantu 4 beebattiddwa mu butemu obw’enjawulo mu Disitulikiti y’ e Mubende neginnayo ey’ e Kyankwanzi.

Omwogezi wa Police mu kituundu kino,  Nobert Ochom akakasizza nga abantu bano bwebattidwa mu butemu obw’enjawolo nga abasatu( 3) ku bafudde entabwe yavudde ku butakkaanya wakati mu bafumbo songa n’obutemu obulala bwakoleddwa mu kimu ku birombe omusimwa zaaabu,  omukuumi w’ekirombe bweyafunye obutakkaanya n’abavubuka 2 okukukkana ng'omu amuziikidde mu kinnya omusimibwa zzaabu n’afiirayo.

Mu Disitulikiti y’e Mubende mu ggombolola y’e Kitenga, omusajja Naheweeza Benard myaka 43 yasse mukyalawe oluvannyuma olw’okufuna obutakkaanya.

 Ate mu disitulikiti  y’e Kyankwanzi mu kabuga k’e  Butemba, ssemaka Zakariya Ndema myaka  75 yakubye mukyalawe emiggo egyamuttiddewo n'oluvannyuma naye neyeeyimbamu omuguwa neyeetuga.  

Share.

Leave A Reply