Abantu 200 Easter bagiriiridde mu buduukulu

Abantu abakunuukiriza eyo mu bikumi bibiri baakomekkereza nga ennaku z’amazuukira ga Yesu Krisitu bagaliiridde mu buduukulu bwa Police mu Kampala n’emiriraano olw’okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka obwenjawulo.

Aduumira  Police mu Kampala n’emiriraano,  Frank Mwesigwa akakasizza bino era n’ategeeza nti abamu ku baakwatiddwa baabadde beekatankidde omwenge ate nga bwebavuga, ate abalala okusala ensawo , okunyakula amasimu n’obusawo n’ebirala bingi.

Abaakwatiddwa baggyiddwa mu bifo omuli Lubaga, Nsambya, Mbuya , Kansanga awamu ne Kampala mukadde .

Mwesigwa agamba nti abantu bano bagenda kusimbibwa mu mbuga z’amateeka enkya  bavunaanibwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ssekitooleko awadde omubaka Akol nsaleesale w’okumwetondera