Abalina COVID19 e Rwanda baweze 5

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Gavumenti ya Rwanda evuddeyo nekakasa nti abantu 4 bebazuuliddwa n’obulwadde bwa #COVID19 obuleetebwa akawuka ka Corona Virus nga kati baweze 5. Minisita w’ebyobulamu yavuddeyo nategeeza nti 3 ku bano Bannansi ba Rwanda, 1 Munnayuganda ne Munnansi wa India.Omu ku bbo Munnansi wa Rwanda wa myaka 34 nga yatuuka mu Rwanda nga 6 March okuva mu South Sudan ne Muganda we okuva e Fiji nga yayita mu America ne Qatar enaku bbiri emabega, ne Munnansi omulala atalina byafaayo ku byakutambula.Owokuna Munnayunganda ow’emyaka 22 nga yatuuse e Rwanda nga 15 March okuva e London. Bano bonna bali mu kujajabibwa era nga bagiddwa mu bantu.

Share.

Leave A Reply