Abalamuzi basazizzaamu akeediimo kaabwe

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abalamuzi wamu n’abakozi mu kkooti  nga beegattira mu kibiina kyabwe ekya  Uganda Judicial Officers Association (UJOA) basazeewo okuyimiriza akeediimo kaabwe akayindidde ssabbiiti bbiri oluvannyuma lwa Gavumenti okukkiriza okukola ku nsonga zaabwe .

Okusalawo kuno abalamuzi bakukoledde mu lukiiko olutudde ku kkooti enkulu mu Kampala mu ttuntu lya leero oluvannyuma lwa Gavumenti okusuubiza nti egenda kwongeza omusaala gwabwe ssaako n’okukola ku by’etaago byabwe ebirala omuli eby’entambula, obukuumi wamu n’ebikozesebwa mu makakkalabizo era wano Pulezidenti w’ekibiina ekibagatta, Godfrey Kaweesa n’ategeeza nti basuubira nti omwezi gwa Museenene wegunaatuukira nga bino bikoleddwako.

Wabula bataddewo nga ennaku z’omwezi 11 omwezi gwa Ntenvu omwaka guno nga singa ensonga zaabwe Gavumenti eneeba ezisudde Muguluka , baakuddamu okuteeka wansi ebikola olwo ate enkalu ziddemu okunoonya obukongovule.

Share.

Leave A Reply