Ssentebe wa COSASE Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Joel Ssenyonyi; “Olwaleero COSASE esisinkanye Minisita w’ebyensimbi eyateeka omukono ku ndagaano yokwewola obukadde bwa ddoola 200 ne EXIM Bank – China okuddaabiriza ekisaawe ky’enyonyi Entebe nakiriza nti ddala obukwakulizo tebwali bwabwenkanya.
China ewambye ebintu by’ensi ez’enjawulo olw’endagaano ezikolebwa nga si zabwenkanya. Abakozi ba Gavumenti mulina okusooka okusoma nemwekkaanya bulungi ebiwandiiko nga temunateekako mikono!”