Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 438 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ekizibu ky’amawanga ga Africa Bukulembeze – Katikkiro Mayiga

January 15, 2018 · Mubiru Ali

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agamba nti ekizibu ky 'amawanga agali mu Africa bwebukulembeze. 

Katikkiro agamba nti Abakulembeze bangi mu Africa naddala mu Yuganda tebamanyi wa gyebatwala ggwanga era nga okwogera bino abadde aggalawo Ekisaakaate kya Maama Nnaabagereka ekya Gatonnya 2018 ekibadde ku Ssomero lya St. Joseph's Of Nazareth High School e Kavule Katende mu Disitulikiti y'e Mpigi .

Ekisaakaate kino kiwomwamu omutwe Maama Nnaabagereka buli mwaka okutumbula Obuwangwa n'ennono wamu n'empisa mu baana. 

"Ekizibu ky Africa,  ekizibu kya Yuganda bakulembeze , omukulembeze okumanya wa gy'atwala baakulembera,  okubayiiyiiza , okukola ebibaganyula,  okubabuulira ekituufu , n'ebyelaliikiriza abantu mu Yuganda leero bya bukulembeze, so tulina okusomesa abaana obukulembeze ".  Katikkiro Mayiga bw'ayogera.