Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abakosebwa e Katakwi Pulezidenti abazimbidde ennyumba

June 20, 2022 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Rtd. Maj. Jessica Rose Epel Alupo, aka Jessica Alupo avuddeyo nategeeza; “Nakiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta okukwasa abantu ennyumba 4 abakosebwa effujjo eryakolebwa mu kulonda e Katakwi mu 2021. Nasiimye nnyo abantu bano olwokubeera abakakkamu oluvannyuma lwebyo byonna ebyaliwo, era nebaza Pulezidenti olwokubazimbira ennyumba.”
Bebazimbidde amayumba kuliko aba Famire ya; omugenzi Mark Elobat okuva mu Palam Sub-county mu Ngariam County, omugenzi Teresa Akiror okuva ku kyalo Apule mu Kapujan, Lucy Apenyo ne Charles Otyang nga balumizibwa byansusso bwebakubwa amasasi mu kifo awolonderwa.