Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Abafulumya ebifaananyi bya Martha Kay basindikiddwa e Luzira

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road asindise abavubuka babiri mu nkomyo e Luzira okuli Herbert Arinaitwe ne Farid Mukiibi ku bigambibwa nti bebafulumya ebifaananyi by’obuseegu ebya Martha Kay.
Bano ababiri begaanye emisango okuli obubbi wamu ne n’okukozesa obubi emikutu gya Internet (offensive communication under the Computer Misuse Act). Kigambibwa nti bano ababiri babba ensawo ya Martha Kay omwali ATM ye eya Stanbic, Driving Permit, essimu n’emitwalo 40 wakati wa nga 10 ne 11 April mu Kampala.
Kigambibwa nti Arinaitwe ne Mukiibi bawa Martha K ebiragalalagala ebimanyiddwa nga scopolamine ebyamuleka nga awunze olwo nebamubbako ebintu bye okwali essimu bbiri okuli; Samsung Galaxy S8 gold ne iPhone X nga nzifugavu. Bano bakukomawo mu kkooti nga 19 – August.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort