Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 145 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Omusirikale wa Poliisi asse omuyindi abadde amubanja ssente obukadde 2

May 12, 2023 · Mubiru Ali
Owogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police, Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti omusirikale waabwe Police Constable (PC) Ivan Wabwire yakubye omuwozi w’ensimbi ku Parliamentary Avenue mu Kampala amasasi agamutiddewo.
PC Wabwire abadde alina loan 2 ezamuweebwa mu 2020. Kigambibwa nti PC Wabwire agenze mu offiisi y’omuyindi okumubalira ssente ezimubangibwa nga yazewola mu 2020. Ebbanja erimu libadde lisalibwa ku musaala gwe butereevu ate eddala abadde azitwerira mu mpeke. Onyango agamba nti omuyindi amutegeezezza nti abadde abangibwa obukadde 2 mu emitwalo 13.