Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Chameleon akubye Dereeva wa Uber

July 24, 2018 · Mubiru Ali

Magobe Daniel nga dereeva wa Uber atutte omuyimbi Jose Chameleon ku Poliisi nga agamba nti yagaanye okumusasula nga amaze okumutuusa ewaka we.

Ono yaguddewo omusango ku Poliisi y’e Lubowa nga agamba nti yavuze Chameleon okumutwala mu makaage ag’e Lubowa wabula nafuluma bufulumi emotoka nga tasasudde, ono bweyagezezaako okumubanja yamukubye bukubi nayiginra ennyumba.

Poliisi egamba nti ekyakola okunoonyereza ku nsonga eno era ne Dereeva yaweereddwa form agende mu ddwaliro lya Poliisi akeberebwe oba nga yakubwa.