Latest News
0

Abadde abba abantu nti abatwala China mukwate

Poliisi ekutte omusajja abadde agamba nti atwala abantu e China mu kkampuni emu nababbako obukadde bw’ensimbi. Ono okukwatibbwa kidiridde abantu 13 okumuwawabira nti yabajjako ssente okubatwala ebweru ate natabatwala.

Nasser Sseremba kigambibwa nti yakungaanya obukadde obuwerera ddala 58 nga abalimba nti agenda kubafunira emirimu egiriko ssente mu China.

Kigambibwa nti ono oluvannyuma lw’okufuna ssente zino abadde akola receipts, passports ne Visa ez’ebiccupuli n’oluvannyuma nabulawo.

Kigambibwa nti Sseremba abadde anyumiza abantu bagenda okubba emboozi ezikwata ku China wamu n’emikwano egy’amaanyi gyalina mu China.

Ono wakugulwako omusango gw’okukukusa abantu, okweyita kyatali najjako abantu ssente wamu n’okuteekawo Kkampuni etalina lukusa kutwala bantu bweru.

.

 

More Similar Posts

Check Featured Posts
Menu