Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 156 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Andrew Felix Kaweesi weeraba.

March 22, 2017 · Mubiru Ali

Akawungeezi ka leero nga ziyingira essaawa kkumineemu, omubiri gwa Assist Inspector Generral of Police era abadde omwogezi w’ekitongole kya Police, Andrew Felix Kaweesi gugalamiziddwa mu nnyumba ey’olubeerera okuliraana bakadde be ku mutala Kitwekyanjovu mu ggombolola y’e Kyazanga ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo mu Buddu wakati mu miranga n’okwazirana kwa namungi w’omuntu.

Luno lwelugendo olusembyeyo bukya Kaweesi awummula okuva ku Lwokutaano lwa ssabbiiti ewedde lweyakubwa amasi agamuttirawo okuliraana amaka ge e Kulambiro mu  Disitulikiti y’e Kampala.

Nasinsi w’abantu okuva e  bule n’ebweya yeeyiye ku mukolo ogwokusibula Kaweesi era nga gukulembeddwamu ekitambiro kyemisa ekikulembeddwamu Omusumba w’obusumba bw’e Masaka, Bishop John Baptist Kaggwa era nga bingi byogeddwa okutendereza obusukkulumu bw’enkola ye ey’ebintu.

Namwandu Annet Kaweesi, gwalese n’abaana abasatu asiimye Katonda olw’okumuwa omusajja gwayogeddeko nti abadde ayagala nnyo Famire ye wakati mu nkuyanja y’emirimu gyabadde nagyo.

George Mutabaazi, Ssentebe wa Disitulikiti ey’e Lwengo Kaweesi gyeyazaalibwa, agambye nti Kaweesi abadde mpagi ssedduge mu kitundu kyabwe, era n’ategeeza nga bwebagenda okubbula oluguudo olugenda e Kitwekyanjovu, luyitibwe amannya ga Kaweesi.

General Edward Katumba Wamala eyali omuduumizi w’amagye Kaweesi weyayingirira Police mu 2001, agambye nti Kaweesi yatandika nga mukozi nnyo era afudde mukozi nnyo .

Ye Ssaabapoliisi General Kale Kayihura aduumira Police ya Yuganda  asambazze n’ebyogerwa nti embeera y’ebyokwerinda eremeredde ab’ebyokwerinda era wano n’ategeeza abantu nti bamaze n’okukwatayo omu ku bateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lya Kaweesi gwebasanze nga ayotta okwolekera DRC.

Andrew Felix Kaweesi aziikiddwa mu bitiibwa ebikulu omubadde n’okutulisa ebyasi mu bbanga emizinga egiweredde ddala 21 . Weeraba Kaweesi.