Ababaka mu Palamenti batabukidde omubaka wa Pulezidenti ne Police – Mubende

Ababaka mu Palamenti abava e Mubende balangidde omubaka wa Pulezidenti, Police n’akakiiko akavunaanyizibwa ku byettaka ku Disitulikiti okubeera emabega w’emivuyo gy’ebyettaka egiviiriddeko banna Mubende okufa . 

Ababaka okuli Joseph Kakooza  owa Buweekula ne Simeo Nsubuga owa Kassanda ey’amaserengeta okutabukira omubaka wa Pulezidenti, Police n’akakiiko k’ebyettaka babadde mu maaso g’omulamuzi Catherine Bamugemereirwe mu kuggulawo olutuula lw’akakiiko kano e Mubende olwaleero.

Joseph Kakooza ategeezezza nti yafeesi zino zonsatule teziyambye banna Mubende okuggyako okwenoonyeza ensimbi mu bagagga abagoba abantu ku ttaka era n’asaba omulamuzi nti bw’abeera agenda agende nazo.

Mu kwanukula, Omulamuzi Bamugemereirwe asabye abantu b’e Mubende okuba ab’amazima nga bawaayo obujulizi n’okukolagana nabo mu bwesimbu

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

66 4 instagram icon