97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Ababaka bawakanyizza ekya Gavumenti okulagira UNOC okutandika okusuubula amafuta

Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko akavunaanyizibwa ku by’obuggaga eby’ensibo bakubye ebituli mu nteekateeka ya Gavumenti okusalawo okuwa kkampuni yaayo eya Uganda National Oil Company Limited obuvunaanyizibwa obwenkomeredde okusuubula olwo kkampuni z’amafuta endala zigasuubule ku kkampuni eno, n’ekigendererwa eky’okukakkanya ku bbeeyi y’amafuta mu Ggwanga.
Akakiiko kano kasisinkanye Ssaabawolereza wa Gavumenti
Kiryoowa Kiwanuka ne Minisita w’ebyamafuta n’eby’obuggaga eby’omuttaka mu Ggwanga Ruth Nankabirwa wabula bano gabamyukidde mu kakiiko olwa kajjojijjoji w’ebibuuzo ababuuziddwa.

Leave a Reply