Abaana 4 baweereddwa caayi alimu obutwa, bataawa – Kayunga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abaana bana nga bonna baamu maka gamu baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvannyuma lw’okunywa caayi agambibwa okubaamu emmimbiri.
Abaana bano ba Kasirye Aphan awamu ne Phionah Nakayiza nga batuuze booku kyalo Kisaaba ekisangibwa mu ttawuni kkanso y’e Kayunga.
Kigambibwa nti Caayi ono yafumbiddwa akawungeezi k’eggulo ne bamuteeka mu Ffulasika wabula bwebamuwadde abaana ku makya ng’alimu obutwa era wetwogerera nga abaana bano bapookyeza ddwaliro lya Masaka Health Service Centre – Kayunga .

Share.

Leave A Reply