Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 145 listening Simba FM Live

Aba People Power muve kunkofiira yaffe – Gen. Muhoozi

May 19, 2020 · Mubiru Ali

Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba mutabani w’omukulembeze w’eggwanga avuddeyo ku mukutu gwa Twitter nasekerera Bannakisinde kya People Power – Uganda eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine;”‘People Power’ munsesa! Mugezezaako nnyo okubeera nga nze naye temusobola kubeera nze. Okukoppa enkofiira yange gyenaleeta mu Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF, eyo enkoppa mbi nnyo. Lwaki temuyiiyayo nkofiira yammwe? Enkofiira emyuufu oba eya Maroon yaffe. Muhoozi ne Afande Saleh!”