Aba NRM 30 abagambibwa okukuba abantu mu Kampala basindikiddwa ku alimanda
Abavubuka nga kigambibwa nti bawagizi ba National Resistance Movement – NRM abakwatibwa ku katambi nga balumbagana abantu ku Lwomukaaga nga 28 – June basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti ya LDC e Makerere. Bano bakwatibwa Poliisi ya Wandegeya oluvannyuma lwobutambi okusaasana ku mutimbagano.
Abamu ku bano bagamba nti si bawagizi ba NRM wabula baweebwa emitwalo 2 buli omu okwambala T-shirt zino era oluvannyuma nebazibaggyako nti ate kati babayita abayaaye. Abalala balumiriza nti babasomba kuva Mukono nebitundu ebirala okubaleeta okuwerekera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Abalala bategeezezza nti bbo bawagizi ba NRM lukulwe.
Bya Christina Nabatanzi

