Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Omulamuzi wa Kkooti ye Nabweru agobye okusaba kwa Bannakibiina kya NUP

August 16, 2023 · Mubiru Ali
Omulamuzi Omukulu owa Kkooti Ento e Nabweru, Esther Namusobya agobye okusaba kwa Bannakibiina kya NUP 11 abakwatibwa ku misango egyekuusa ku butujju nga baagala omusango gwabwe gugibwe mu Kkooti eno gutwalibwe mu Kkooti etaputa Ssemateeka ennyonyola ekyaviirako Kkooti y’e Nabweru okutandika okubawozesa so nga okunoonyereza ku musango ogubavunaanibwa kwali tekunaggwa.
Omulamuzi Namusobya ategeezezza nti bano tebalaga kituufu kyebemulugunyako ekyabaviirako okulowooza nti baawozesebwa Uganda Police Force tennamaliriza kunoonyereza.