200 bagombeddwamu obwala Police mu kivvulu kya KCCA

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police mu Kampala agamba nti yagombyemu obwala abantu abasoba mu bikumi bibiri (200) abateeberezebwa okuba abazzi b’emisango mu kivvulu kya Kampala Capital City (Carnival).

Mu kafubo k’abaddemu ne Radio Simba, ayogerera Police mu Kampala n’emiriraano Emillian Kayima atutegeezezza nti abantu bano baakwatiddwa ku misango egy’enjawulo mu “Carnival” eyatandika ku lunaku lwokutaano n’ekomekkerezebwa ku Sande ya jjo era n’ategeeza nti bagenda kusimbibwa mu mbuga z’amateeka baggulweko emisango.

Share.

Leave A Reply