Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 164 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ebya Dr. Stella Nyanzi byolekedde kkooti

April 10, 2017 · Mubiru Ali

Omunoonyereza ate Omusomesa mu ssettendekero wa Makerere Yunivasite, Dr. Stella Nyanzi asuubirwa okulabikako mu kkooti mu Kampala leero avunaanibwe.

Dr. Stella Nyanzi yakwatibwa ku lwokutaano lwa ssabbiiti ewedde n’atwalibwa ku Police station y’ e Kira eri mu Munisipaali ey’e Kira.

Ku nkomerero ya wiiki gyetukubye amabega, ayogerera Police mu Kampala n’emiriraano yategeeza ab’amawulire nti ono agenda kusimbibwa mu kkooti leero awerennembe n’emisango gy’okweyambisa emikutu egy’embikkulirwa kumanya okuvvoola n’okulengezza.