15 bavunaaniddwa lwakwagala kuwamba Gavumenti

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Ttiimu yabebyokwerinda banoonyerezza ku kibinja ky’abayekera ekyatandikibwawo okulwanyisa Gavumenti ekya ‘The Uganda National Coalition for Change (UNCC)’ era abantu 15 abakwatibwa basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’amaggye e Makindye nebavunaanibwa emisango egy’enjawulo.
Bano mu bifo ey’enjawulo mu Yuganda, DRC ne Tanzania batandikawo ekibiina ky’abayekera ekya UNCC n’ekigendererwa ekyokusuula Gavumenti eyalondebwa abantu nga bakozesa ebyokulwanyisa.
Bano kuliko;
1. Lugendo Stuart Savio Paul aka Kuffa Teeka 28, musuubuzi w’okukyalo Kyoga, Namusera Parish, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
2. Mulinda Julius aka Julio, 32 muzimbi era omutuuze w’e Bukerekere mu Disitulikiti y’e Wakiso.
3. Nyanzi Mohammed Moshi Makumbi aka Engineer, 31mutuuze w’e Kabusi – Bukuya, mu Disitulikiti y’e Kassanda.
4. Kizito Issa aka Commander Muto, mutembeeyi w’e Kasangombe Mpunga ward, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
5. Agodri Godfrey aka Skywalker Ramathan, 23 muvuzi wa booda booda e Kinawa village Kisenge Parish, Kyengera TC, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
6. Iyamulemye Paul 18, mutuuze w’e Nakawa East, Nakawa Division, mu Disitulikiti y’e Kampala.
7. Bogere Alex, 20, omutuuze w’e Namagera, Magogo subcounty, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
8. Ssenyonga Bob Robert, 23, musuubuzi w’e Kinawataka, Nakawa mu Disitulikiti y’e Kampala.
9. Masembe John aka Nasifu, 29, mutuuze w’e Busimbi Railway, Mityana Municipality, mu Disitulikiti y’e Mityana.
10. Mitti Fazio, 30, mutuuze w’e Kirombe Luzira, Nakawa Division, Kampala.
11. Ssenyonjo Hakim, 32 Ddereeva nga mutuuze w’e Kikajjo zone, Namasuba, Wakiso.
12. Matovu Sylevster, 21, Musuubuzi e Kisimbiri mu Wakiso.
13. Kawuma Derrick, 25, kinyoozi omutuuze w’e Kisimbiri, mu Wakiso.
14. Ssekayombya Tony, 24. mutuuze w’e Kyoga, mu Wakiso.
15. Ssengonzi Lwanga Sam, 41, mutuuze w’e Kabusi, Bukuya, mu Disitulikiti y’e Kassanda.
Bano bavunaaniddwa emisango 12 okuli; okulya mu nsi yaabwe olukwe, okwesigaliza ekyaama ky’okulya mu nsi olukwe, esmisango 4 egyobubbi, emisango 4 egyobutemu wamu n’okusangibwa n’ebyokulwanyisa. Kati esigaddeyo 18 nabo abagenda okutwalibwa mu Kkooti.”

Add Your Comment