BREAKING NEWS
Pulse Uganda: Digital number plate delays leave vehicles stranded across Uganda Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Observer: Equity bank empowers Lira residents through solar irrigation Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout MBU: GNL Zamba mourns loss of 107-year-old maternal grandmother Observer: NSSF, Nile Breweries rally traders on savings, responsible retailing MBU: It’s a shame – Eddy Kenzo questions UPRS shs200M payout to Ugandan musicians East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Police apologise for misinformation about death of DTB customer, clarify circumstances

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

URA ekutte basatu abajingirira ebiwandiiko

Abantu 3 bakwatiddwa nga ku bano kuliko abakyala 2 ku bigambibwa nti babadde bajingirira ebiwandiiko by’ekitongole ekisolooza emisolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA), eby’ebitongole bya Gavumenti ebirala n’ebitongole by’ensi yonna.
Bano kuliko; Ali Kimera Ssajjabi, Amina Nambalye ne Hadijah Nakitende nga babadde bakolera ku Nasser Road mu Kampala, URA egamba nti babadde babalinnya kagere okumala enaku eziwerako nga banaabwe abalala babiri bbo badduse.
Bano basangiddwa ne stamp enjingirire 119 nga 39 ku zino za bbanka ez’enjawulo, ebbaluwa z’okusoma ezamatendekero agawaggulu. Babasanze ne Computer kwebabadde batereka ebiwandiiko ebirala ebijingirire.
Basangiddwa ne kkaadi z’emotoka ne Piki piki enjigirire nga kigambibwa nti bandiba nga babadde bakolera wamu nababba emotoka ne Piki piki oluvannyuma nebatta bannyini zo.
Stamp z’Ebitongole bya Gavumenti ebirala zebasangiddwa nazo kuliko; ey’eggye lya UPDF, Uganda Police Force, Ministry of Defence and Veteran Affairs, Uganda Registration Services Bureau Registrar, Ministry of Works and Transport, Uganda National Roads Authority weighbridges, Ministry of Agriculture, Ministry of Lands, ne Ministry of Gender, Labour and Social Development.
Basangiddwa ne Stamp za Gavumenti z’ebitundu ne Disitulikiti okuli: Mityana, Kampala Capital City Authority – KCCA, Deputy Mayor Kampala ne Kawempe, Luweero, Mpigi, Kaliro, Kamuli, Kapchorwa, Mbarara, Bundibugyo, Kitgum, Koboko, Buikwe, Mukono, Mayuge, Kayunga Sheema ne Kamwenge, Nabweru, Mityana, ne Mukono.
Basangiddwa ne Stamp z’amalwaliro okuli; Mengo Hospital, Fort Portal Hospital, Malaika Medical Centre Kitemu, Kasangati Health Centre, IMC Wandegeya, Mukono Health Centre ne Stamp ya DHO wa Disitulikiti y’e Kyotera. Basangiddwa ne Certificate z’amasomero agasomesa abasawo, ez’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga Uganda National Examination Board, transcripts za Kyambogo ne Makerere University.
Bano basangiddwa ne Stamp 14 ez’ebitebe eza visa okuli eya Oman, South Africa Police Service, Zimbabwe Immigration, India Immigration ne United Nations.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply