Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,052 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Poliisi ekutte abawagizi ba Walukagga

February 3, 2021 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’Omwogezi wa Uganda Police Forceowa

Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Nsangi mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa mukaaga bwekoze ekikwekweto mu maka ga Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Walukagga Mathias agasangibwa e Maya mu Disitulikiti y’e Wakiso oluvannyuma lw’okutemezebwako nti wabaddeyo ekibinja ky’abantu abakungaanidde yo nga ensonga ebukungaanyizza tenategeerekeka.
Abantu 45 bebakwatiddwa nga abasinga obungi batuuze b’e Kawempe nga kati bakuumirwa ku Poliisi y’e Nateete ne Nsangi ku bigambibwa nti bakoze ekikolwa eky’obulagajjavu ekiyinza okuviirako okusaasana kwekirwadde ekikambwe.
Ye Walukagga teyakwatiddwa oluvannyuma lwokudduka neyesibira mu nnyumba. Abakwatiddwa bagenda kutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe.