Uncle Money bamusalidde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 4

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omulamuzi omukulu owa Kkooti ya Buganda Road, Ms Miriam Okello olunaku olwaleero asalidde Omumyuuka wa Ssentebe wa Kasubi Zone IV era omuwagizi wa ttiimu y’eggwanga ow’erinnya Jackson Ssewanyana aka Uncle Money ekibonerezo kyamyaka 4 agimale mu mbuzekogga oluvannyuma lwokwenyigira mukutta kw’omubbi w’essimu.

Uncle Money avunaaniddwa ne Benson Ssenyonga nga ono wa ddifensi nga kyazuuliddwa nti bebakulemberamu abantu abakuba Siraje Hakim Tumusiime nebamutta. Omuwaabi wa Gavumenti Timothy Amerit ategeezezza Kkooti nti Tumusiime yalina abaana 3 wamu n’abakyala 3 kati bamulekwa ne Bannamwandu olwebikolwa byabano.

Omu ku Bannamwandu Joan Natukunda agamba nti ekibonerezo ekiweereddwa bano kitono nnyo nga babadde betaaga ekisingawo. Tumusiime eyattibwa nga 16-August-2019 yali mutunzi wa ssimu ku Mutaasa Kafeero Plaza mu Kampala, abantu abatategeerekeka bamukubira essimu naava ewuwe mu Lubya Zone, era oluvannyuma yalabwako nga atambula ne Uncle Money nga bayita emabega wa Royal Hotel mu Munaku Zone IV era awo Uncle Money weyamukwasiza abavubuka abaali bataamye obugo nga bakulembeddwamu owa ddifensi Ssenyonga abamukuba okutuusa lweyafa.

Share.

Leave A Reply