97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

UNATU evumiridde eky’abasomesa okuganza abayizi

Ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National Teachers’  Union (UNATU)  kivumiridde abasomesa abakkira abaana bebasomesa ate ne beefuula Namunswa nebatanula okulya ku nswa.

Ssaabawandiisi w’ekibiina kino James Tweheyo agamba nti ekikolwa kino kikolebwa abasomesa naye kikyamu nnyo ddala gyebali n’eri eggwanga era kikontana n’amateeka agafuga abasomesa ate n’ageddiini. 

Tweheyo okwogera bino asinzidde ku ebyo ebibunye emikutu gy’amawulire nga biraga nga Prof. Mukiibi eyaziikibwa ssabbiiti ewedde bweyakkira abaana abasoma mu masomero ge n’abaganza era n’abazaalamu abaana nga n’abalala baasigazza embuto.

About Mubiru Ali

Leave a Reply