Twagala katale kaffe kati – Sipiika wa Nakawa Luyombya
Sipiika wa Nakawa Godfrey Luyombya olunaku olwaleero yegasse kubasuubuzi nomu katale Kitintale okubanja akatale kaabwe akatamalirizibwanga kati emyaka 11.
Ono agamba nti akasiriikiriro akaliwo mu mwaka gwebyensimbi 2025/26 kireetawo akabuuza.
Abasuubuzi baweebwa enaku 14 zokka okwamuka ebifo webabadde bakolera kireetawo okutya. Luyombya agamba nti babagamba tewali ssente zikola bigasa bantu bangi so nga zebawa Ababaka zo zirabika!
EKIMALA KIMALA!

