Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Twagala Bobi atwalibwe ebweru w’eggwanga afune obujanjabi – Yawe

Aba family y’Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu bavuddeyo ne bategeeza nti balina enteekateeka zebakoze ez’okutwala omuntu waabwe emitala w’amayanja okufuna obujanjabi.

Eddie Yawe agamba nti mubwangu ddala nga Bannamateeka ba Kyagulanyi bamaze okufuna bail bateekateeka okumutwala wabweru w’eggwanga ajanjabwe. Ono agamba nti bafunyeemu akalembereza nga omulamuzi amukirizza okufuna obujanjabi wano mu ggwanga wadde nga bbo balowooza nti buno tebumala.

Ye omu ku ba Nnamateeka be Asumani Basalirwa agamba nti Omulamuzi wa Kkooti enkulu e Gulu Mubiru  Stephen yakirizza okuwulira ensonga y’okusaba bail y’abasibe bonna 33 ku monday nga 27 – August.

Ye Medard Sseggona yatutegezeza nti bataddeyo okusaba kwabwe okwa Bail eri omulamuzi wa Kkooti enkulu e Gulu Mubiru Stephen ku lunaku olw’okuna.

????????????????????????????????????

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort