Tugenda kuyita abo bonna aboogera nti Oulanyah yafa butwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwebatandise okukola olukalala lw’abantu abagenda okuyitibwa bakunyizibwe kwebyo byebayogera ku kiki ekyaviirako okufa kwa Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah nti yaweebwa butwa.
Bano kuliko; Taata w’omugenzi Nathan Okori, omumyuuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM owamassekatti Godfrey Ssuubi Kiwanda, Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Minisita Chris Baryomunsi, Hon. Gilbert Oulanyah, Hon. Santa Okot, Bosmic Otim, abakulembeze ab’enono mu Acholi, ba bloggers n’abalala.
Enanga agamba nti ayagala abantu bano baleete obujulizi kwebyo byeboogera nti Jacob bamuwa butwa ekyawukana ne ku Postmortem Report eyafulumizibwa abasawo. Kino kizze nga Abakulembeze mu Acholi batandise okutuula okwekeneenya ensonga entuufu eyaviirako omwana waabwe okufa.
Share.

Leave A Reply