Temugenda kwekalakaasa musaaga – Poliisi

TEMUJJA KWEKALAKAASA TUBATADDEKO ABIRI:
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police agamba nti waliwo ebiwandiiko bi kiro kitwala omunaku nga baluubirira okutaataganya okulayira kwa Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Yoweri Kaguta Museveni nga bitimbiddwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuli Kampala, Wakiso, Masaka ne Rakai.
Ebipande ebiwandiikiddwako “Museveni Tajja Kulayira” kigambibwa bitimbiddwa ekisinde kya Time is Now ekigamba nti kirina obuwagizi okuva ebweru nga balina ekigendererwa ekyokulemesa Pulezidenti Museveni okulayira nga 12-May-2021.
Okusinziira ku Post zaabwe ku Facebook ekisinde kino kigamba nti Munnakibiina kya National Unity Platform- NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wineyemuwanguzi omutuufu ow’akalulu ka 2021 nti era bakolerera kulaba nti bakuuma obuwanguzi bwa Bannayuganda.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply