Temuddamu kusengula bantu ku ttaka mu Masaka – Minisita Nabakooba

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka mu Ggwanga Hon. Judith Nabakooba yayimirizza mbagirawo okugobaganya abantu ku ttaka okwetoloola Disitulikiti y’e Masaka naddala mu ma Ggombolola okuli Kyannamukaka ne Kyesiiga.
Minisita Nabakooba era yalagidde ebyapa byonna ebyagabwa ku ttaka lya Gavumenti okuddamu okwekeneenyezebwa nga ebinaazuulibwa nga byayita mu makubo makyamu byakusazibwamu.
Minisita ebiragiro bino yabiweredde Buyaga mu Ggombolola y’e Kyannamukaaka bw’eyabadde agenze okulondoola ensonga z’ettaka mu kitundu kino era bweyavudde e Buyaga yeyongeddeyo mu Ggombolola ye Kyesiiga.
Share.

Leave A Reply