

Uganda eri mu nteeseganya ne World Bank – Minisita Musasizi
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by’enfuna Henry Musasizi, avuddeyo nategeeza nga Gavumenti bweri mu nteeseganya ne Bbanka y’Ensi yonna ku kuyimiriza okuwa Uganda obuyambi olw’etteeka ly’ebisiyaga. Ono agumizza Bannayuganda nti tebasaanye kweralikirira kuba enteeseganya zakuvaamu ebibala.

Abayizi abafudde olwomuliro ogwakutte ekisulo baweze 7
Omuwendo gw’abayizi abafudde oluvannyuma lw’o.muliro okukwata ekisulo ky’abayizi abalenzi eky’essomero lya Kasana Junior School gulinnye okutuuka ku bayizi 7. Kino kiddiridde abayizi 5 okuli; Arnold Tumwesigye, Muganga Martin, Hillary Walugembe, Jordan Ssendagire ne Austine Kisomosi okufiira mu Ddwaliro lya Gavumenti erye Kiruddu gyebaatwaliddwa okufuna obujjanjabi obusingako nga bagiddwa mu Ddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital.

IGG talina kunnyonyola Bannayuganda ku kyaba asazzeewo – Deputy IGG
Omumyuuka wa IGG Patricia Ochan bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ayanukudde Ssentebe wa COSASE Joel Ssenyonyi namutegeeza nti okusinziira ku tteeka lya Inspectorate of Government Act, IGG tewali werimwetaagisizza kunnyonyola Bannayuganda lwaki aba asazeewo okuggya emisango ku muntu omu. Ochan era awolerezza ekya IGG okuggya emisango ku Ebiru nategeeza nti COSASE yawaayo ebyo byokka ebyali mu […]

Ssenyonyi yewuunyizza IGG okuggya emisango ku Ebiru
Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti aka COSASE Joel Ssenyonyi, avuddeyo nategeeza nti yewuunyizza nnyo era kyamukubye wala okuwulira nti IGG yaggye emisango gyobukenuzi n’okulya enguzi ku eyali ED wa Uganda National Bureau of Standards – UNBS David Ebiru wadde nga yawa Gavumenti obujulizi obumala okumuluma ku misango gino omwali n’obwo ye yennyini okweyogerera nti yawaayo obukadde […]

Ab’e Katonga mulekerawo okukozesa obubonero bwa FDC – Amuriat
Obukulembeze bwa FDC e Najjanankumbi obukulemberwa Patrick Oboi Amuriat bulabudde ab’ekiwayi kye Katonga obutaddamu kweyita bakulembeze ba FDC wadde okukozesa obubonero bw’ekibiina. Pulezidenti wa FDC ekiwayi kye Najjanankumbi Patrick Oboi Amuriat aweze okufafagana ne Erias Lukwago wamu ne banne singa tebakomya kweyita bakulembeze ba FDC.

Abayizi ba Kasana Junior baleeteddwa e Kiruddu
Abayizi b’essomero lya Kasana Junior School mu Kibuga Masaka eryakutte omuliro mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa kumi ezookumakya baleeteddwa mu Ddwaliro lya Kiruddu National Referral Hospital, Kampala nga bagiddwa mu Ddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital.

Pulezidenti wa DRC ategeezezza nga bwagenda okuzimba ekikomera ku nsalo ya DRC ne Rwanda
Pulezidenti wa Democratic Republic of the Congo, Felix Tshisekedi alangiridde nti agenda kuzimba ekikomera ku nsalo yaabwe ne Rwanda amawanga gano geyawule bulungi okusobola okutaasa abantu be ku bayeekera ba M23. Ono agamba ekimuwalirizza okusalawo bwatyo kwekuba nti Rwanda evujjirira abayeekera ba M23 n’ekigendererwa eky’okutabangula DR Congo n’okugibba wabula bino Rwanda ebyegaana. Tshisekedi agamba abasinga […]

UHRC etuulidde okwemulugunya kwaffe ku kutyoboola eddembe lyobuntu
Pulezidenti wa Forum for Democratic Change ow’ekiwayi ky’e Katonga Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti bakoze kyonna ekisoboka okulwanirira eddembe ly’obuntu wabula ngebitongole nga Uganda Human Rights Commission – UHRC bituulidde amaanyi gaabwe.

Minisita avunaanyizibwa ku byobuwangwa atandise okulambula ebifo eby’ennono
Minisita w’Obwakabaka bwa Buganda avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, n’Ebyokwerinda Dr.Anthony Wamala atandise kaweefube w’okulambula ebifo by’ennono. Ono asookedde Masanafu mu Masiro ga Ssekabaka Kiweewa. Owek. Wamala awerekeddwako Ssaabalangira Godfrey Musanje ne Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi David Nkalubo.