Ssewanyana ne Ssegiriinya balwadde bayi – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Ekitundu kyolwaleero olwa Good Friday tukimazeeko ne banaffe Hon. Allan Ssewanyana ne Hon. Muhammad Ssegiriinya e Kigo mu kkomera. Ababaka bano balwadde bayi nga betaaga obujanjabi mu bwangu.
Ab’obuyinza ku kkomera batutegeezezza nti tebalina busobozi buwa bujanjabi butuukiridde eri Ababaka. Puleesa ya Hon. Ssewanyana ekyaremedde waggulu 180/140 okuva lweyatwalibwa mu kkomera, alina anemiya n’emikono gye gyazimba.
Enaku 3 emabega, Hon. Ssegiriinya yaggwa mukinaabiro naddusibwa mu kalwaliro k’ekkomera nebamuwa Pain killers ne antibiotics. Olubuto lwe luzimbye nnyo nga omukono ggwe ogwa ddyo n’engalo ze byasanyalala. Ababaka bano balina eddembe lyabwe ery’obujanjabi obwenjawulo wabula bagaaniddwa okufuna obujanjabi.”

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply