Ssemaka aswadde ebitagambika e Kaliisizo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omusuubuzi ow’amaanyi Ivan K nga nzaalwa y’e Kaliisizo mu Kyotera aswadde ebitagambika bw’apanze n’aba Funeral Service ne baleeta ssanduuke mbu erimu omulambo gw’omwana we wabula nekizuulibwa oluvannyuma nga mulimu muti.

Kigambibwa nti ono yategezezza ab’oluganda lwe wamu n’emikwano gye nti omwana we eyali alwadde omutima nga bweyafiiridde ku nnyonyi nga atwalibwa e India okulongoosebwa.

Kigambibwa nti ono yatidde kuswala oluvannyuma lw’omukyala okumutegeeza nti omwana eyafudde teyabadde wuwe wabula nga wa musajja mulala. Abakungubazi bekengedde bweyagaanye abantu okulaba ku mulambo nga abategeeza nti gwabadde gufaanana bubi wabula oluvannyuma lwokukozesa amaanyi kyababuuseeko okuzuula nti mu ssanduuko mwabaddemu muti.

Share.

Leave A Reply