Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 409 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Interpol ekutte ebintu ebijingirire ttani 5

June 19, 2019 · Mubiru Ali

Ekitongole kya Poliisi y’ensi yonna kyakutte ttani 4 ez’omwenge omujingirire wamu ne kkatoni 250 ez’ebizigo ebijingirire nga bibalirirwamu obukadde 500. Ag. Director Interpol and International Relations SCP Oyo-Nyeko Benson yakakasizza kino mu lukungaana lwa Bannamawulire olwabadde ku kitebe kya Interpol e Kololo.
Ekikwekweto ekyatuumiddwa FAGIA kyagenderedde okulwanyisa ebyamaguzi ebijingirire ebiri ku katale era nga kyakoleddwa mu naku 5 zokka mu Kampala n’emiriraano.
Oyo-Nyeko yagabye nti abasuubuzi babiwaayo kyeyagalire era nebakola endagaano nga bakiriza bisanyizibwewo. Yayongeddeko nti gakyali mabaga kuba ebikwekweto bikyagenda mu maaso mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Bingi ku byakwatiddwa byagibbwa mu buggwa njuba bwa Afirika.
Ekikwekweto kyabaddemu ebitongole eby’enjawulo okuli; URA, URSB, Stop counterfeit n’ebintogole by’ebyokwerinda eby’enjawulo mu ggwanga era nga byatwaliddwa e Nakasongola okusanyizibwawo.